Psalms 41

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

1 aAlina omukisa asaasira omunaku;
Mukama amulokola ku lunaku olw’akabi.
2 b Mukama anaamukuumanga anaawonyanga obulamu bwe,
era anaamuwanga omukisa mu nsi;
n’atamuwaayo eri okwegomba kw’abalabe be.
3 Mukama anaamujjanjabanga nga mulwadde;
n’amuwonya mu bulumi.

4 cNayogera nti, “Ayi Mukama onsaasire omponye; kubanga nnyonoonye mu maaso go.”
5 dAbalabe bange boogeza obukyayi nti,
“Alifa ddi n’okwerabirwa ne yeerabirwa?”
6 eBwe bajja okundaba beefuula mikwano gyange;
naye munda yaabwe bankyawa era basanyuka okulaba nga ngalamidde awo nnumwa.
Bwe bansiibula bagenda beesekera nga bwe baduula.

7 fAbalabe bange bonna abo bateesa mu kaama;
nga banjogerako ebitali birungi.
8Boogera nti, “Endwadde emukutte mbi nnyo,
emukubye wansi tayinza kuwona.”
9 gEra ne mukwano gwange gwe neesiganga
bwe twalyanga,
anneefuukidde.

10 hNaye ggwe, Ayi Mukama, onsaasire,
onzizeemu amaanyi ndyoke nneesasuze.
11 iMmanyi ng’onsanyukira,
kubanga omulabe wange tampangudde.
12 jOnnywezezza mu bwesimbu bwange,
ne mbeera mu maaso go ennaku zonna.

13 kAtenderezebwenga Mukama Katonda wa Isirayiri,
oyo eyabaawo okuva edda n’edda lyonna n’okutuusa emirembe gyonna.
Amiina era Amiina.
Copyright information for LugEEEE